Thursday 13 May 2010

Pentecostal churches in Uganda face closure by NEMA over noise

The National Environment Management Authority(NEMA) has directed the Town Clerk of Kampala City council, Ruth Kijjambu to close the bars and churches that pollute the environment by making noise. The churches include:Victoria Church , Ndeeba, Gospel Healing Church International , Ntinda, Healing ministries , Mulago, Centre of Grace Ministries , Katanga -Wandegeya, Living Water Church , Najjanankumbi , Kisaasi Fire Centre Church Hope of Glory ministries , Grace Healing Centre, Bethel Church , Tabernacle Church , Munyonyo and Christ Witness Church e Kisaasi.


NEMA efulumizza amakanisa n’amabaala ag’okuggalwa


http://www.bukedde.co.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=23293:nema-efulumizza-amakanisa-namabaala-agokuggalwa&catid=29:amawulire&Itemid=572

Bya Hannington Nkalubo
Thursday, 13 May 2010 13:29
EKITONGOLE kya NEMA kiragidde KCC eggalewo ebbaala 33 n’ekkanisa z’Abalokole 10 lwa kuwogganyiza bidongo mu bitundu gye ziri. Akulira ekitongole kino Henry Mugisha Aryamanya yafulumizza olukalala okuli ebbaala zino n’amakanisa n’aluweerezza Town Clerk Ruth Kijjambu ng’alagira asazeemu layisinsi z’ebifo ebyo era ziggalwe.
Olukalala era lwaweerezeddwa ne mu ofiisi endala okuli ey’omuduumizi wa Poliisi Kale Kayihula, RDC Alice Muwanguzi, akulira obutonde bw’ensi mu Kampala ne meeya Ntege Sebaggala.

Olukalala luno kuliko ekkanisa ya Vitoria Church e Ndeeba, Gospel Healing Church International e Ntinda, Healing ministries e Mulago, Centre of Grace Ministries e Katanga -Wandegeya, Living Water Church e Najjanankumbi , Kisaasi Fire Centre Church Hope of Glory ministries , Grace Healing Centre, Bethel Church , Tabernacle Church e Munyonyo ne Christ Witness Church e Kisaasi.

Ate ebbaala kuliko eya M/S Ssebo Green Recreation centre e Muyenga, Gazana bar and restaurant, Rons pub e Kisaasi, Chogm Pork joint Namuwongo, Mambo Jambo e Mengo, Dallas pork joint e Kisaasi, Machame health and Leisure Club e Naggulu ne City Control Sound e Nakawa.

Ebifo ebirala kuliko Beach house event e Ggaba, The Zone club e Bukoto, V8 bar e Wakaliga, Wallet club e Kabuusu , Best Hotel e Nateete, Green fields Gardens e Kanyanya , Soberz bar and Night club e Ntinda , ne Vee’s club Discotheque Bakuli.

Ku lukalala era kuliko Gentleman’s Club Bugoloobi, Ground Zero Wandegeya, Zanzi bar and pork joint Kiwatule, Dallas bar and night club Kisaasi, Vanessa Club Kitintale , Obama club ne blue Mango e Mutungo.

Ate Victoria park e Bunga, Club –x e Kabalagala , Bonanza Club e Ktintale , Daido wonders e Makindye, A-Y Club e Makindye, DV8 Luzira, After 6 e Luzira ,Club 2000 e Mkindye ne Jomica e Kawaala.

Ebbaluwa ya NEMA eragira KCC eggale ebbaala zino kubanga ziremeddwa okuzimba ebitangira amaloboozi obutafuluma nnyo bweru kutataaganya batuuze abasula okumpi nazo.