Friday 17 September 2010

Embattled wife disowns city pastor

FIRST READ: Apostle John Mulinde and George Otis, Peter Wagner false Transformation Revivals in Uganda


http://watchmanafrica.blogspot.com/2009/02/apostle-john-mulinde-and-george-otis.html



Embattled wife disowns city pastor

http://newvision.co.ug/D/8/12/731995


Tuesday, 14th September, 2010


By Vision Reporters

SHEILA Jasmine, the wife of Pastor John Mulinde, accused of running away with a city-based hair stylist, has said she had long separated with the clergyman.

Jasmine was dragged to Katwe Police Station on Monday with her lover Jeff Mugisha. She said in a statement she had split with Mulinde five years earlier, following an acrimonious affair. Thus, the pastor cannot be her husband, she said.

The lovers were picked up at dawn on Monday from Mugisha’s home in Kisasi suburb.

Mugisha runs JEPHI’s Beauty Spot on Jinja Road where Jasmine is a regular client.

According to the Katwe CID boss, Vincent Okurut, the woman denied knowledge of Mulinde. “She denied any knowledge of Pastor Mulinde,” the Katwe CID boss, Vincent Okurut, said yesterday.

Mulinde had earlier reported a case of threatening violnecne against Mugisha. Both Jasmine and Mugisha recorded statements over the allegded threats before being released on bond that very day.

Mulinde heads the Africa Prayer Mountain based in Sseguku and the founder of World Trumpet Centre in Kampala. He accused Mugisha of sending him death threats on his mobile phone. Mugisha denied this.

Mulinde and Jasmine, who have one child, were wedded at St. Paul’s Cathedral Namirembe four years by Bishop Samuel Balagadde Ssekadde following the death of Mulinde’s first wife, Prossy, in 2000. The reception was held at Speke Hotel Munyonyo. Several pastors, some from the US and Isreal, attended.

Talking to Bukedde, a New Vision sister paper yesterday, Ssekadde said the ceremony was organised by the office of the dean of the church. Pastor Joseph Sserwadda, the leader of the Born Again Faith Federation, said he attended the reception.

At the moment, Mulinde is in the United States on a private visit. Before he travelled, he hired security to watch over his wife whom he suspected of infidelity. The security operatives pitched camp near Mugisha’s residence where they picked up the couple, sources said.

But on Monday, Jasmine said the relationship was no more and that she and Mugisha even have a child, the Police said.

Mugisha told Bukedde that the accusations were faked to kill his business. “I and Sheila have decided not to respond to these malicious accusations,” he said.

The Police said pastor had not provided enough information and he could not shed more light since he is out of the country.

“Given the denial by the woman, we will need the pastor to substantiate his claims otherwise we cannot proceed with the case,” Okurut stated.

Mulinde is a renowned international evangelist and has traveled across the world in the last decade. His message is about repentance, holiness and revival.

By press time, details about Jasmine were scanty; however, those who know her said she lived in Mengo-Kisenyi, a downtown Kampala suburb, before marrying the pastor.

When she got saved, she attended Pastor David Kiganda’s Christianity Focus Centre Church, also in Kisenyi. She relocated to the Kibuye-based Prayer Palace Church, where she met Mulinde.

Baka Mulinde bazze bakola ebyesisiwaza

http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=167&newsId=732354

Bya Musasi wa Bukedde

OMUSUMBA John Mulinde eyatadde bambega ku mukyala we Sheila ne bamukwatira mu bwenzi ne kinyoozi, azze afuna ebyekango mu bakazi b’awasa.

Mukyala we eyasooka, Prossie teyali mwenzi naye yamulekera ekyekango ekyatwala emyaka okumuggwaamu era ekyali kimulemesezza okuddamu okuwasa.

Giweze emyaka mwenda bukya Prossy Mulimde afa. Omugenzi Prossy yali mukazi wa maanyi mu kkanisa ya World Trumpet Mission nga kigambibwa nti yalagulanga ebintu ne bituukirira.

Prossy eyali yaakazaalira Mulinde abaana musanvu yasooka kufa mu 1996 n’addamu okufa mu 2001 okusinziira ku b’ekkanisa eno.

Okufa kwe kwennyini nakwo tekwali kwa bulijjo kuba ab’omu kkanisa eno bagamba nti yafa okumala ennaku bbiri era ku lunaku olwokusatu lwe yali agenda okuziikibwa yazuukira n’atandika okwogera byonna bye yali alabye ng’abibuulira abagoberezi.

Prossy yamala emyaka ena ng’abuulira enjiri erimu obubaka bw’ebintu bye yali alabye lwe yafa era ng’alabula nnyo abagobererzi okweteekateeka balongoose amakubo gaabwe ekiseera kyabwe eky’okufa kituuke nga beelongoosezza.

Enjiri eno yagibuulirira emyaka ena n’alumbibwa obulwadde bw’omutima n’afa n’aziikibwa ku kkanisa ya bba eya Prayer Mountain ku lusozi e Sseguku.

Ebizibu by’Omutume Mulinde wano we byatandikira, kuba abakazi aba buli kika baamwekubako abawase nga buli omu ajja ng’amutegeeza nga bw’afunye obubaka nti ye mukazi gw’ateekeddwa okuwasa.

Abakazi abamu baamukubiranga amasimu abalala obubaka obuwandiike ekyamuwaliriza n’okweggyako essimu n’agiwa omu ku bagoberezi be.

Abakazi bano bonna Mulinde yabeegobako n’abategeeza nti Katonda tabamulaganga nti b’ateekeddwa okuwasa.

Embeera eno yamuwaliriza okuvaako mu Uganda okumala ekiseera n’abeerako ebweru nga bw’alinda ekiddako. Bwe waayitawo ekiseera, yakomawo mu Uganda.

Yategeka olukung’aana lw’abavubuka lwayita Timothy Camp oluleeta abantu okuva e bule n’ebweya era wano amawulire gaatandika okuyitingana nti yali afunye omuwala ow’okuwasa.

Mu 2005, Mulinde yagenda mu kkanisa n’alangirira nti yali afunye omuwala ow’okuwasa era oluvannyuma kyategeerwa nti omuwala eyali ayogerwako ye Sheila Jasmine nga nzaalwa ya mu Kisenyi e Mmengo.

Wano obuzibu bweyongera kuba abantu abamu tebaasiima muwala ono nga bagamba nti baali bamulabye enneeyisa ye nga si nnungi.

Abagoberezi baagezaako emirundi mingi ng’omusumba akyayogereza omuwala okumusaba obutamuwasa nti waakiri yandibadde afuna omukyala omulala mu kkanisa ye.

Okuwabula kuno omutume Mulinde yakugaana nga bw’agamba nti nga Katonda talina kye yamugambye.

Mutume mulinde kino tekyamugaana okugenda mu maaso era bwatyo yatandika okwanja enteekateeka z’okuwasa Sheila, mu butongole abantu abasinga mu kkanisa baali tebamumanyi baamwekanga bamulaga eri abagoberezi.

Abamu baamulabira ku lunaku olwali olwokukulizako amazaalibwa ga Mutume Mulinde, lwe yaweza emyaka 40 egy’obukulu wakati mu kabaga kamazaalibwa Mulinde n’alaga abagoberezi Sheila.

Sheila abantu baamulabirawo nti nti si mwangu ku ngeri gye yali yeeyisaamu nga mukalukalu okufa era yanyumirwanga nnyo okuyimba n’okuzina naddala mu bintu by’abavubuka bye yeetabangamu ennyo.


Published on: Saturday, 18th September, 2010