Monday 17 January 2011

Pastor John Mulinde forgives wife

First Read: Embattled wife disowns city pastor

http://newvision.co.ug/D/8/12/731995

Pastor Kiganda has scandalized the Church

http://www.ugpulse.com/articles/daily/news.asp?about=Pastor+Kiganda+has+scandalized+the+Church&ID=1908


Some time back pastor John Mulinde caught his wife in adultery. Pastor Mulinde has now forgiven his wife and they are now back together. Bravo, Pastor John Mulinde I hope Pastor David Kiganda will learn from you.


Katonda takkiriza kukyawa- Mulinde

http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=186&newsId=743901

Bya Moses Jjagwe

OMUTUME Mulinde owa World Trumpet Mission akubirizza abakkiriza okusonyiwagana n’okulwana entalo ezo zokka eziyamba mu Bwakatonda.

Bino biddiridde okutabuka ne mukyalawe bwe yamukwatira mu bwenzi gye buvuddeko kyokka oluvannyuma n’amusonyiwa era kati bali bonna. Mulinde agamba nti Katonda takkiriza kukyawa.

Bino byabadde mu mu lukung’aana olwa 16 olutegekeddwa ku Hotel Africana. Yagambye bwati:

Alleluya, (abantu baddamu Amiina ey’amaanyi) Mukama yeebazibwe, olukung’aana luno tulukoze kugolokosa abantu abagenda okuba eggye lya Katonda.

Ekitabo kya Yoweri 2:11 kiraga nti Mukama agolokosa eggye ery’amaanyi atuyita okukola omulimu guno, ogw’okugolokosa abantu be ku lw’omulimu gw’okumuweereza.

Katonda yeetaaga eggye kubanga Obwakabaka bwe buli bubi. Tulinga embeera Nekemia gye yabuuzaako abantu abaali bava mu Yerusalemu, era bwe yabiwulira n’akaaba amaziga nga kw’otadde okuyuza engoye ze ng’akungubaga.

Ku bintu byonna ebingi ebizze bibaawo eri omubiri gwa Kristo okozeewo ki nga ggwe eggye lya Katonda? Bingi bye nzize ndaba nga birumba omubiri gwa Kristo ensangi zino, olumu n’atuuka n’okuvaayo okulwana olw’embeera ezo, naye Mukama n’antegeeza nti olutalo si lulwo lundekere, buno bukodyo bwa mulabe kwagala kukusuuza ky’olina.

Kikwetaagisa bwetaagisa kumanya nkwe ze olwo n’olyoka omulwanyisa oba okumwesonyiwa. Buli lw’omanya enkwe za sitaani tojja kunyiigira muntu yenna, ojja kumanya ani amukozesa by’akola, era ng’olina kumusonyiwa obutamukyawa kubanga Katonda takkiriza kukyawa.

Olina okumanya nti ekigendererwa kya sitaani kukubbako bibala bye wandibaze, kubanga Katonda atulagira okubala ebibala n’ebibala byaffe bibeerewo. Mujjukira omuti Yesu gwe yajja okunogako ebibala nga tekuli wadde ekimu, buli lw’otobala bibala oba nga omuti ogwo.

Sitaani amanyi ekigambo kya Katonda ekikwatagana n’okubala ebibala ky’ova olaba ye yajja kubba, kutta, na kuzikiriza, ng’ekigendererwa kye kwe kukuwugula oleme kukola Katonda by’ayagala.

Kye nkusaba togendera ku bintu by’olaba kungulu bijja kukukooyeza bwereere, entalo ezaffe tuzirwanira mu mwoyo, wano we nva ne mbuuza nti okubala ebibala kye ki?

Okubala ebibala kwe kukola Katonda by’ayagala okole oba okutuukiriza mu Yokaana 7.

Kino bw’okitegeera oba olina okubuusa ebintu ebimu amaaso n’obiraba ng’ebitaliiwo. Yesu yagamba nti omuntu bw’akukuba oluyi ku ttama erimu omukyusiza n’eddala, oli bw’akuggyako ekkooti yo n’ekkanzu ogimuwerangako. Yesu okwogera bino yali alaga abantu obutawoolera ggwanga eri abakoze obubi, naye bamwagalizenga birungi.

Yobu, mukazi we bye yamugamba nga mulwadde nti yeegaane Katonda afe, naye ye Yobu n’amuddamu nti oyagala tusuubire birungi byokka okuva eri Katonda, nedda si byokka naye n’ebizibu kye nva mbakuutira nti oba birungi oba bibi sigala ng’obala ebibala eby’Obwakatonda ebimuweesa ekitiibwa.

Muganda wange si buli ntalo ezijja mu maaso go nti olina okuzirwana, ezimu zijja ng’ekigendererwa kyazo kukuwugula ove ku ky’oliko, oyinza okuba nga ky’okola kituufu naye omubi n’ayagala akuwugule ebirowoozo odde ku kigenda mu maaso essaawa eyo.

Naye eggye lino Katonda ly’agolokosa okutendeka lirina okuba nga limwebuuzaako nga terinnakola kintu kyonna. Lisooka kumanya kiki Katonda ky’ayagala, Mukama bwe yali antegeeza kino yankuutira okutuukiriza ekigendererwa ky’ebibala byange.

Mukama yandabula obutayonoona biseera, era yankuutira obutalwana ntalo ezitayamba Katonda, nneme kuzeenyigiramu ku lunaku olw’okuyimirira mu maaso ge ndabike nga nnina ebibala ebisaanidde.

Abooluganda buli lutalo olujja gy’oli luleke lugende mu maaso naye ggwe sigala ng’ogenda mu maaso, kubanga omulabe awuluguma nga empologoma enoonya owookulya, naye nze emmere yange kwe kukola Katonda by’ayagala.

Ekiseera kituuse abantu okutandika okulyamu bannaabwe enkwe, n’okwagala kugenda kuwola, naye ekinaatuwanguza kye kigambo kya Katonda okubeera mu ggwe olwo olyoke owangule ebikulumba byonna.

Sonyiwa akola obubi osobole okusigala ku mulamwa tusobole okusigala ku bigendererwa ebyatuyisa Katonda

Amaka mangi gasasise ensangi zino lwa butamanya nkwe za sitaani nga kati bali wansi wa buwambe bwa sitaani. Katonda agamba nti sonyiwa buli akoze obubi osobole okugenda mu maaso n’olutalo.

Published on: Saturday, 15th January, 2011