Saturday 15 September 2012

Uganda’s famous Mukono based Occult Pastor Prophet Mbuya Sebastain arrested for defiling a girl in a lodge




FIRST READ:

Ugandan Prosperity Occult Pastors take their antics to NBS TV : Exposing Apostle Semakula Deo and Prophet Mbuya Sebastain

http://watchmanafrica.blogspot.com/2009/11/ugandan-prosperity-occult-pastors-take.html

 

Nabbi, abagoberezi emikisa agibagabira beebase wansi





Pastor Yiga Sued for sexually using a young girl and later dumping her.





DPP sanctions file for pastor Mbuya on charges of defiling a student

http://www.ugpulse.com/uganda-news/people/dpp-sanctions-file-for-pastor-mbuya-on-charges-of-defiling-a-student/27293.aspx

The Office of the Director of Public Prosecution is expected to sanction the police file for the prosecution of the Mukono based Prophet Sebastian Mbuya who is facing charges of defiling a student.



Police in Kampala says that investigations in the case are complete and the file is currently before the DPP who is expected to prefer charges to allow the prosecution of the culprit today.



The Kampala Police Spokesperson Ibbin Ssenkumbi says that there is sufficient evidence from the medical personnel implicating Pastor Mbuya
after he was arrested red-handed with the young girl at one of the lodges in Mukono.



Ssenkumbi warns the general public against some people who claim to be religious leaders saying that
Mbuya a self-proclaimed Prophet has a record of sexually abusing members of his congregation.

 

Omusumba bamukwatidde mu loogi n’akawala k’essomero


Sep 15, 2012
Bya Henry Nsubuga
POLIISI y’e Mukono erinnye akagere Nabbi w’ekkanisa y’Abalokole ew’erinnya e Mukono n’emukwatira mu loogi emu nga yeerigomba n’akawala k’essomero ekiro.


Eyakwatiddwa ye Nabbi Sebastian Yasin Mbuya Talemwa Magombe owa Delivering Power Church International esangibwa mu Kitega e Mukono.


Mbuya okukwatibwa kyaddiridde poliisi okufuna olugambo nti waabaddewo omusajja eyabadde atutte akawala k’essomero mu loogi ekiro kwe kusitukiramu n’etandika omuyiggo.


Akulira okubuuliriza ku buzzi bw’emisango mu Disitulikiti y’e Mukono, Henry Mugumya yagambye nti baagenze mu loogi emanyiddwa nga Bamboo esangibwa mu Ggulu okumpi n’Essaza kwe kusanga Mbuya n’omuwala ow’emyaka 17 (amannya galekeddwa) ng’ ali mu S.5 ku ssomero lya Mukono High School.


Mugumya yagambye nti Mbuya yakwatiddwa ku ssaawa 4.30 ez’ekiro ku Mmande omuwala n’asooka  okulimba nga bw’atalina bazadde kyokka oluvannyuma ne kizuuka nga wayiseewo ennaku nti abazadde gye bali era nga n’okusoma asoma.


Oluvannyuma lw’ensonga zino okwagala okuvuvubibwa ku Poliisi e Mukono, abatwala Poliisi ku kitebe e Kampala baatumizza fayiro eno n’omuwala n’atwalibwa ew’omusawo wa Poliisi e Kampala okumwekebejja.


Maama w’omuwala, (amannya galekeddwa) yagambye nti muwala we yabadde alimbye Poliisi nga bw’alina emyaka 18 ekitali kituufu. 


Mugumya yategeezezza nti bakyakola okunoonyereza okulaba nga Nabbi Mbuya bamutwala mu kkooti avunaanibwe okusobya ku mwana atanneetuuka.


Mu kwewozaako, Mbuya yategeezezza nti yafuna amawulire nti loogi ya Bamboo bagenda kugitunda kwe kugendayo alabe nnyiniyo kyokka bwe yatuuseeyo n’amulindako nga tajja ate ng’akooye kwe kusalawo okugira nga yeebaseeko mu kamu ku busenge.


Aduumira Poliisi y’e Mukono, Ashraf Chemonges Seiko yagambye nti Mbuya asobezza ku baana bangi kyokka nga bamunoonyerezza ebbanga erisoba mu mwaka omulamba nga yeekweka. 


Yategeezezza nti Mbuya alina fayiro ku poliisi ez’emisango okuli kati ogw’okusobya ku mwana oguli ku fayiro nnamba CRB:2766/2012, ogw’okusobya ku mugoberezi eyali agenze okumusabira n’amufunyisa olubuto, bwe yazaala omwana n’agaana okumulabirira oguli ku fayiro nnamba CRB:429/2012, ogw’okusangibwa n’ebiragalalagala n’okwemulula n’adduka ku poliisi oguli ku fayiro nnamba CRB:500/2012 n’endala nnyingi.


Mbuya abadde ayita abantu ng’asinziira ku mikutu gy’empuliziganya egy’enjawulo ng’ategeeza nga bw’akola ebyewuunyo.

Suspected Cult members held

http://allafrica.com/stories/200910010169.html


The new Vision, 30th September, 2009

Herbert Ssempogo,

Kampala — THE Police in Mukono are holding 14 people, among them two security personnel and a pastor, Sebastian Mbuya, suspected to be cult members.
Following a tip, the Rapid Response Unit (RRU) personnel on Sunday stormed the Deliverance Power Centre and picked the suspects. They were led to the RRU head office in Kireka, a Kampala suburb, where they were still being held by yesterday morning.


The Police said Mbuya was duping the congregation into believing that he had special powers, was extorting them and was child sacrifice. Mbuya also claimed to help barren women have children.


The activities of the church are being investigated by the C ID and the suspects are due for interrogation. The two security personnel were only identified as a police woman and a UPDF soldier.


Meanwhile, a centre official, Pastor Madinah Kagoye, recorded a statement in which she denied any wrongdoing. Along with other church members, she demanded the release of the suspects.


In a related incident, the Police in Luweero recently arrested over five people, who allegedly belonged to a cult whose members do not eat cooked food.